Effumbe lizze liwaga

NGA baakamala okuwuttula Enjovu 6-1 mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda, bazzukulu ba Walusimbi, Abeffumbe, bakomyewo mu nsiike leero nga bawera okukola ekintu kye kimu ku ba Ggunju (Aboobutiko).

 Abazannyi b’Emmamba Gabunga mu ssanyu, oluvannyuma lw’okuwandulamu Engabi Ensamba wiiki ewedde.

Butikko ne Ffumbe 8:00

Mmamba  Gabunga ne Nkima 10:00

Ttiimu zombi zittunka ku ‘quarter’ ku kisaawe e Wankulukuku. Maneja w’Effumbe, Mark Pinto Nsobya, asabye Aboobutiko okujja n’ebisero mwe baanaalondera ggoolo enjolo ze bagenda okubateeba, kuba tebalina kirala kye baakugukamu okuggyako okuteeba.

“Omwaka oguwedde, Engabo yatuyita mu ngalo, naye ku luno tufi irawo, era tetugenda kukkiriza kino kuddamu,” Nsobya bwe yawaze. Omwaka oguwedde, bazzukulu ba Katongole (Abente), baawangula Effumbe (1-0) ku fayinolo eyali e Bulemeezi.

Wabula ne maneja w’Obutiko, James Musitwa agamba nti ebigambo bya Nsobya tebigenda kubaggya ku mulamwa kubanga balina abazannyi abalungi abaduumirwa ssita wa Villa, Godfrey Lwesibawa. “ Tuli bagumu era tulinze ssaawa tulage kye tulinawo,” Musitwa bwe yategeezezza.

Ng’omupiira gw’Effumbe n’Obutiko guwedde, wagenda kuddawo ogwa Mmamma Gabunga n’Enkima.