Bayungudde abagenda okukwatira Uganda bendera mu bikonde bya East Afrika

KIRAABU ya COBAP ey’ebikonde eyungedde ttiimu kabiriiti omuli abazannyi abagenda okukiikirira Uganda mu mizannyo gya ‘East African Games’ egigenda okuyindira mu kibuga Bunjumbura ekya Burundi.​

 Lawrence Kalyango ku ddyo omutendesi wa kiraabu ya COBAP ne ttiimu y'eggwanga ey'ebikonde ng'awa obukodyo abazannyi be; Shariff Gobba Kiweewa ku kkono ne Ronald Gayita wakati.Ekif FRED KISEKKA.

Bya Fred Kisekka

Empaka zino zaakumbujjira wakati wa August 16 ne 25 era zigenda kwetabwamu emizannyo egyenjawulo okuli ebikonde, emisinde, okubaka, Basketball n’emirala mu mawanga ga East Africa okuli Uganda, Kenya, Tanzania, Burundi ne Rwanda.

Lawrence Kalyango omutendesi wa COBAP ne ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde ‘The Bombers’ yagambye nti  ttiimu ye agisuubira okubbinkana ne bakirimaanyi ba East Africa esobole okudda n'emidaali.

Abamu ku bazannyi kiraabu ya COBAP beeyungudde kwekuli kapiteeni Yusuf Babu, Isaac Masembe, Shariff Gobba Kiweewa, Ronald Gayita, Wasswa Bawa ne Moses Kalema.