'Twagala kisaawe kya kapeti'

AKULIRA emizannyo mu Munisipaali y'e Gulu, Robert Okot, asabye FUFA ne kkampuni ya Airtel okubazimbira ekisaawe ky'ekiwempe.

 Junior Ofoyuru owa Yumbe Heroes (ku kkono) ng'attunka ne Nasib Najib owa Yumbe Golden Generation.

Northern (bawala)

National Youth 2-0 Kitgum Rwot Ker

Balenzi

Kitgum Rwot Ker 1-0 Football For Good

West Nile (bawala)

Paidah Women S.A 0-1 FHL Simba FC

Balenzi

Yumbe Golden Generation 0-2 Yumbe Heroes

Bino yabisabidde ku kisaawe kya Gulu Prisons P/S, awaabadde empaka za Airtel Rising Stars ezigendererwa okunoonya ebitone.

Empaka zaawanguddwa National Youth (bawala) ne Kitgum Rwot Ker (balenzi) okuva mu ligyoni ya Northern, ate mu West Nile ne wavaayo FHL Simba (bawala) ne Yumbe Heroes.