Empindi n'Enkima balwanira fatinolo ya bika bya Buganda

BAZZUKULU ba Mazige (Abempindi) n’aba Mugema (Abenkima) buli omu ayogeza maanyi ng’agamba nti Engabo y’omwaka guno yiye.

 Kabaka ng’awuubira ku bantu be bwe yali e Bukalasa mu Bulemeezi omwaka oguwedde ku fayinolo y’emipiira gy’Ebika.

Lwamukaaga ku fayinolo y’Ebika;

Mpindi - Nkima, 9:00 e Kibibi

Ku fayinolo y’okubaka;

Mmamba Gabunga - Nte, 7:00

Ebisale; 5,000/- ne 10,000/-

BAZZUKULU ba Mazige (Abempindi) n’aba Mugema (Abenkima) buli omu ayogeza maanyi ng’agamba nti Engabo y’omwaka guno yiye.

Ebika byombi byambalagana ku fayinolo ku kisaawe kya Kibibi SS mu Butambala era Ssaabasajja Kabaka Muwenda Mutebi yasiimye okuggalawo empaka z’omwaka guno.

Empindi enkambi yagikubye Gombe era egamba nti buli kimu yakimanyidde tewali kigenda kubalemesa kuwangula Nkima nga bwe baakola mu gwaggulawo bwe baamegga Olugave okusinziira ku mukungu waabwe Ismail Mboowa.

Wabula ne maneja w’Enkima, Henry Ssali yagambye nti bagenze e Butambala nga bakimanyi bulungi nti tebagenda kuvaayo ngalo nsa.

Baazannyeemu ogw’okwegezaamu ne Katwe United gye baalemaganye nayo ggoolo 1-1 era Ssali agamba nti bagenda kulwana bagolole obusobi obutonotono bwe baabadde tebannakolako.

Empindi erwana kuwangula Ngabo omulundi gwayo ogwokuna mu byafaayo sso nga Enkima, erwanira yaakusatu nga yasemba kukiwangula mu 1993 era erwana kweggyako kikwa kya myaka 25.

Empindi yasemba kugigabana na Ngabi mu 2007.