Aba USPA batandise kampeyini y'okulwanyisa obubenje omwaka guno

Bannamawulire abawandiika ag’emizannyo mu kibiina kya USPA kampeyini y’okulwanyisa obubenje bagitadde ku kugaba musaayi okwongeraza ku kusiiga Zebra Crossing awasalirwa abeebigere.

 Aba Standrd Chartered Bank nga bakwasa aba USPA ceeke ya bukadde 10 okutegeka emikolo gy'okujjukira bannamawulir eabaafiira mu kabenje e Lugazi n'okulwanyisa obubenje mu ggwanga. Okuva ku ddyo ye pulezidenti wa USPA Sabiiti Muwanga. Addiriddwa Joshua Bagatya akuira abayizi mu ttendekero lya Buganda Royal Insititute, Rita Aliguma omumyukawa pulezidenti wa USPA, Regina Mukiri owa Standard Charterred Bank ne Michael Mukundane omukwanaganya mu kitongole ekiddukanya okusolooza n'okuganba omusaanyi. Babadde ku kitebe kya bank eyo mu Kampala. (Ekif:Silvano Kibuuka)

Batandika nkya (lwakubiri) ku ttendekero lya Buganda Royal Institute e Mengo mu nkolagana gye bataddewo wakati waabwe ne bank ya Standard Chartered Bank wamu n’ekotongole ekivunanyizibwa ku kukung’anya omusaayi mu ggwanga ekya Uganda Blood Transfusion Service (UBTS).

Omulamwa omwaka guno guli nti “Vva ku ssimu ng’oli ku luguudo ne bw’oba otambuza bigere”.

Kitunzi wa bank eyo era avunanyizibwa ku nkolagana yaayo n’ebitongole ebirala, Regina Mukiri y’alangiridde entegeka eno empya gye badduukiriddemu aba USPA okulwanyisa obubenje.

“Tuwaddeyo obukadde 10 mu kampeyini y’omwaka guno nga butaano bugenda ku kusaba musaayi mu bantu nga twagala paayinta 1000 mu nnaku ttaano. Tukolaganye n’ekitongole kya Uganda Blood Transfusion Services ekivunanyizibwa ku kugaba omusaayi mu ggwanga okutuukiriza kaweefube ono,” Mukiri bw’ategeezezza.

Ku Lwokusatu bali ku yinivasite ya IUIU, ku Lwokuba mu yunivasite ye Makerere, ku Lwokutaano ku Mukwano Arcade olwo bafundikirire e Lugazi ku Lwomukaaga nga September 1 okufundikira wiiki ya USPA okulwanyisa obubenje.

“Mutuwe omusaayi kubanga twetaaga payinta 300,000 omwaka gw’ebyensimbi guno. Omusaayi gukaddiyira mu nnaku 35 n’olwekyo tuteekwa okufuna omupya buli kiseera,” Mukundane bwe yategeezezza.

E Lugazi era bategeseeyo empaka z’obugaali eri abatuuze wamu n’okusiiga Zebra Crossing ku Lwomukaaga.

Pulezidenti wa USPA Sabiiti Muwanga ategeezezza nti okusabira abagenzi okwa buli mwaka kwa Lwakusatu ku Christ The King.

USPA baatandika okulwanyisa obubenje nga bajjukira bannabwe ababufiiriddemu nga baatandikidde ku Kenneth Matovu, Leo Kabunga, Simon Peter Ekarot ne Francis Batte Junior abaafiira mu kabenje e Lugazi nga August 21 2001 bwe baali ku mirimu gya USPA.