Cranes yeesozze enkambi okwetegekera Tanzania mu mpaka za AFCON

Cranes yeesozze enkambi okwetegekera Tanzania mu mpaka za AFCON

Abasambi ba Cranes, Hassan Wasswa, Isaac Muleme, Denis Iguma ne Isaac Isinde leero be beegasse ku ttiimu eri mu kutendekebwa e Lugogo okwetegekera Tanzania mu mpaka z’ekibinja L okusunsula abalizannya eza AFCON ez’akamalirizo e Cameroon omwaka ogujja.

Ttiimu eyingidde olunaku olwokubiri okwetegekera omupiira guno ng’abasambi abasambira ebweru w’eggwanga bonna basuubirwa okweyanjula enkya e Lugogo.

Kati abazannyi baweze 20 ku ttiimu eno era nga Hassan Wasswa olweyanjudde n’ategeeza nti Tanzania beetegefu okugimegga kubanga Uganda erina obwagazi bungi okuddayo mu Africa Cup of Nations.

“Tanzania tetuginyoma wabula tulina enkizo nti ffe tukulembedde ekibinja kati. N’olwekyo tulina okulwana okwesigaliza ku ntikko kituwe enkizo y’okuyitamu,” Wasswa bw’ategeezezza bannamawulire oluvannyuma lw’okutendekebwa e Lugogo leero.

Abasambi abasuubirwa enkya kwe kuli Denis Onyango, Moses Odong, Salim Magola, Godfrey Walusimbi ne Luwaga Kizito.

Ttiimu esiibirwa okutandika okutendekerwa e Namboole ku Lwokubiri.