Aviv Orland avuddeyo okuvuganya bakafulu mu ddigi

Ku myaka 15, Aviv Orland yakuvuganya ne bakafulu ba ddigi mu Uganda okuli taata we Barrack Orland.

Aviv ng'avuga ddigi e Busiika.

Empaka za ddigi eza laawundi eyoomukaaga zeeyongeddemu ebbugumu, musaayi muto Aviv Orland (15) bw’asaze eddiiro okuva mu mutendera ogwokuna (MX 85) n’adda mu gwa bakafulu (MX1).

Asaf Natan omu ku bakafulu Aviv bagenda okuvuganya ne

 

Aviv y’omu ku bavuzi ba ddigi abato abasinga okuyiribya ddigi kyokka yagambye nti ayagala kwongera kwegera alabe emisinde gye we gituuse naddala ng’avuganya ne bakafulu b’eggwanga omuli taata we (Barrack Orland), Arthur Blick Jr, Maxime Van Pee, Olivier Van Pee n’abalala.

Musaayi muto Aviv Orland.

 

“Njagala kulaga bakulu baffe nti, okuvuga ddigi si myaka. Emirundi egisinga abavuzi bava ebweru wa Uganda ne bavuganya ne bakulu baffe kyokka nga naffe tulina obusobozi obuvuganya nabo. Ng’enda kulaga bannange nti naffe tusobola okuwa bakafulu okuvuganya okw’amaanyi,” Aviv bwe yagambye.

Nga September 30, Aviv y’omu ku bavuzi abagenda okuvuganya mu mpaka ezigenda okubeera e Busiika. Empaka zino zaakulagibwa layivu ku Urban TV eri wansi wa Vision Group efulumya olupapula lwa BUKEDDE.