Aubameyang agugumbudde abakulira omupiira e Gabon

Kitaawe, Pierre Aubame yazannyirako Gabon emipiira 80 era n’abeerako ne kapiteeni waayo wabula mu makkati ga wiiki eno, Gabon yamuwadde obutendesi.

 Aubameyang ne kitaawe

OMUTEEBI wa ttiimu y'eggwanga eya Gabon ne Arsenal, PierreAubameyang agugumbudde abakulira omupiira e Gabon, olw’okulonda kitaawe ku butendesi bwa ttiimu y’eggwanga eno ey’omupiira.


Kitaawe ono, Pierre Aubame yazannyirako Gabon emipiira 80 era n’abeerako ne kapiteeni waayo wabula mu makkati ga wiiki eno, Gabon yasazeewo okumuwa obutendesi bwa ttiimu oluvannyuma lw’okugobwa kwa Jose-Antonio Camacho enzaalwa ya Spain.


Wabula okulondebwa kwa Aubame, Aubameyang teyakusiimye n’ategeeza nti baamuwadde omulimu ng’atasoose na kukkiriza.


Aubameyang, nga naye ttiimu eno gy’azannnyira, agamba nti okusooka okutegeeza ensi yonna nga bwe balonze kitaawe ku butendesi nga tebasoose kuwuliriza oba kitaawe mwetegefu okugitendeka kye kyasinze okumuluma.


“Taata baamukubidde essimu emuwa omulimu wabula n’abaddamu nti waakubategeeza oba akkiriza gye bujja ate bo baagenze mu maaso na kutegeeza nti bamuwadde omulimu ng’ate tannasalawo,” Aubameyang bwe yagambye n’ategeeza nti mu kiseera kino, kitaawe mulwadde.