
NG’AVABUZI ba mmotoka beetegekera empaka eziggalawo kalenda y’omwaka guno, abakungu b’ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga ekya FMU, beetemyemu ku bubonero obwaggyiddwa ku Ronald Ssebuguzi n’abalala.
Omugatte, abavuzi 16 be baakoseddwa ensalawo ya FMU wiiki ewedde, ekyaviirako ebifo by’engule y’eggwanga okukyuka, nga kati abaali basuubira okugiwangula essuubi lyakendedde, sso ng'abalala lyagwerawo ddala.
Abavuzi abaggyiddwaako obubonero balangibwa kunyomoola tteeka lya FIA, ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu nsi yonna, ery’okuvuga ne batakozesa ttanka empya ekika kya 'FT3 Safety Fuel Tanks'.
Ernest Zziwa, omumyuka wa ssaabawandisi wa FMU, yagambye nti ebyafulumiziddwa pulezindenti waabwe, Dusman Okee, si bye byasaliddwawo akakiiko k’oku ntikko (Management committee)
Okee mu bbaluwa yategezza nti; Abavuzi abaabadde batagwanira bubonero twabubaggyeeko nga tuyita mu kawaayiro 7.1.1 akafuga okuvuganya ku ngule y'eggwanga n’akawaayiro nnamba 2.4 aka ssemateeka wa FMU.
Kyokka Zziwa yagambye nti; tetulina buyinza busalawo era ne pulezidenti tabulina, kuba tulina okusooka okuyita abalala abakola akakiiko akaddukanya ekibiina kino (Executive Committee), Zziwa bwe yannyonnyodde.
NRC bw'eyimiridde kati
Jas Mangat 305
Ronald Sebuguzi 300
Susan Muwonge 295
Hassan Alwi 210
Bwe babadde bayimiridde ng’obubonero tebunnasalwako
Ronald Sebuguzi 340
Susan Muwonge 315
Jas Mangat 305
Hassan Alwi 230