Suzan Muwonge ajaguzza okuwangula NRC 2018

‘Super lady’, Suzan Muwonge alabudde abavuzi ba mmotoka z’empaka nti omwaka gujja akomawo kulwanira ngule.

 Muwonge n'ebimu ku bikopo by'awangudde mu mmotoka z'empaka.

NANTAMEGGWA wa NRC 2018, ‘Super lady’, Suzan Muwonge alabudde abavuzi ba mmotoka z’empaka nti omwaka gujja akomawo kulwanira ngule n’akubalaga nti ddala takyali wa muzannyo.

Bino Muwonge yabyogedde ku kabaga kwe yajaganyiriza okuwangula engule y’emmotoka z’empaka ey’omwaka guno gye yatwalidde ku bubonero 395 oluvannyuma lw’okuwangula empaka z’e Mbale. Akabaga kabadde ku Stallion Hotel e Nateete ku Lwomukaaga.

Muwonge (ku kkono) ne Edmon Kyeyune amusomera maapu nga basala keeci.

 

Muwonge yagambye nti, “Buli lukya nnyongera okwekiririzaamu. Obuwanguzi buno bwongedde okundaga nti ndi wa maanyi era nsobola okufufuggaza buli omu mu muzannyo guno.”

Yayongeddeko nti ayagala kutandika kuvuganyiza ku ngule ya Afrika kuba wano mu Uganda talyalina ky’amaanyi ky’agenda kulaga bawagizi. Muwonge yaakawangula engule z’eggwanga biri (2011 ne 2018).

Akabaga kano, kaabaddeko abavuzi b’emmotoka z’empaka ab’enjawulo nga basoose mu mmisa eyakulembeddwa Rev. Fr. Deogratius Kateregga Kiibi eyasabye abaami okuwagira bakyala baabwe mu buli kye bakola n’okwenyigira mu mizannyo egy’enjawulo.