Aba ddigi beebugira ziggulawo sizoni

Abavuzi ba ddigi 60 bakakasizza okwetaba mu mpaka ezinaaggulawo sizoni e Garuga

 Arthur Blick Jr( ku ddyo), ng'akuba William Blick akaama

Abavuzi abasoba mu 60 bakakasizza nga bwe bagenda okwetaba mu mpaka za ddigi, eza  ‘Mountain Dew Motorcross Championship', ku Ssande.

Empaka zino, eza laawundi esooka, ze ziggulawo kalenda ya ddigi, era ziri Garuga ku lw'e Ntebe.

Umar Mayanja, pulezidenti w'ekibiina kya Speedway Motorsports Club, abategesi b'empaka zino, agamba nti abavuzi bonna bamaze okuwawula ebyuma.

" Kano ke kaseera buli muvuzi okulaga ky'alinawo asobole okukuhhaanya obubonero obunaamuyamba okuwangula engule," Mayanja bwe yategeezezza.

Nnantameggwa w'omwaka oguwedde ku mutendera gwa bakafulu (MX1), Arthur Blick, tagenda kuzeetabamu oluvannyuma lw'okulangirira nga bwe yannyuse omuzannyo guno mu 2018.

Empaka zaakulagibwa layivu ku Urban TV, eri wansi wa Vision Group, efulumya ne Bukedde.