KCCA FC efunye akakiiko k'abawagizi

Ssentebe wa KCCA FC atongozza akakiiko k'abawagizi, n'akasaba okutalaaga eggwanga lyonna basobole okusaggula abawagizi ab'enjawulo

 Abakakiiko k'abawagizi ba KCCA akaggya nga bali ne  ssentebe wa kiraabu, Aggrey Ashaba (atudde mu mujoozi omuddugavu) wamu ne Anisha Muhoozi (amuddiridde ku ddyo), akulira KCCA

SSENTEBE wa KCCA FC, Aggrey Ashaba atongozza akakiiko k'abawagizi n'asaba abakulembeze baako okukola obutaweera okuggulawo amatabi mu ggwanga lyonna.

Kano ke kakiiko akasoose mu byafaayo bya ttiimu eno kuba bulijjo abawagizi tebalina bukulembeze bubagatta.

"Mulina okukola omulimu oguteekawo enjawulo kuba tubataddemu obwesige bw'okulaba ng'abawagizi bongera okwettanira kiraabu yaffe," Ashaba bwe yategeezezza.

Akakiiko kaliko abakulembeze 11 okuva mu divizoni za Kampala ettaano (Kawempe, Makindye, Lubaga, Kampala Central ne Nakawa) nga lukulemberwa pulezidenti, John Fisher Kasenge, era lwakumalako emyaka ena.

Abalala abali ku kakiiko kuliko; Sophie Najjemba (omumyuka wa pulezidenti ku by'obukulembeze n'ebyensimbi), Rogers Mulundo (omukwanaganya), Adam Ssegawa (muwandiisi), Sarah Namaganda (mumyuka w'omuwandiis), Shakirah Nalweyiso (byansimbi), Tom Matovu (mawulire), Hakim Kasirye (byantambula), Henry Mutebi (akiikirira abayizi abasajja), Gladys  Nakazzi (byampisa) ne Lillian Namaganda akiikirira abayizi abakyala.