Obuwanguzi kye kinyusi ky'omupiira

ABAVUBUKA babiri kata balwanire mu kibanda e Bukolooto mu Kayunga, nga bawakana ku ani asinga okuzannya omupiira wakati wa Arsenal ne ManU.

 Scott McTominay (ku kkono) owa Liverpool kata afune kaadi olw’okusindika Sadio Mane. Baalemaganye 0-0 ne Liverpool.

Owa Arsenal ng'agamba nti, "ManU temanyi kusamba mupiira wabula ekola kimu kuteeba ggoolo."

Ate owa ManU ng'ajuliza nti, "Omupiira ekigendererwa kyagwo kuwangula era toyinza kugunyumirwa nga bakukuba."

Buli ttiimu eba n'ennono yaayo. Eya Barcelona ya kuseetula mupiira ne paasi ennyimpi nga ggoolo ziva mu nkwe ezitegeerekeka mu nkola emanyiddwa nga ‘akawoowo'.

Eno ya njawulo ku ya Real Madrid ey'omupiira ogwa sipiidi n'okuzinduukiriza. Ku muwagizi wa Barcelona omutuufu, okuteeba ggoolo eya ppakupaku tekimunyumira sso nga ku wa Real afa essanyu!

Eri owa Real, omupiira gwa taaci ennyimpi ng'abazannyi tebakutula tegunyuma sso nga eri owa Barcelona, omupiira ogw'okupakuka ayinza n'okusaba omutendesi agobwe.

Eno ye nsonga lwaki omuwagizi wa Real amatira Ronaldo, akuba ggoolo ez'ekibwatukira, sso nga n'owa Barcelona afiira ku Messi ateeba ennyo ez'amagezi.

Embeera y'emu y'eri ku Arsenal ne ManU mu Bungereza. Ennono ya ManU ya mupiira gwa sipiidi, okuyita ennyo ku wingi n'okuzinduukiriza (counter attack).

Eri ManU, tekifaako bw'obeera ennyo n'omupiira kasita toba wa bulabe mu bbookisi yaayo kyokka olugukubbako, abazannyi baayo balina okuguddusa mangu bagutuuse ku ggoolo yo, ggoolo enywe!

Ennono ya Arsenal efaananako eya Barcelona eya paasi ez'okulabagana ggoolo eve mu lukwe olutegeerekeka.

Mu ManU, omuteebi okutuuka mu bookisi n'agaba omupiira aba tamanyi mupiira sso nga mu Arsenal ekyo kitundu ku nnono yaayo.

Ronaldo, Van Nistelrooy, Rooney, Andy Cole, Sheringham, Solskjaer n'abalala, baafuuka bassita baayo kuba baagya mu nnono eno.

Arsenal terina nnyo bateebi abo ‘bassasirimu' wabula abaayo batera kuyita ku wingi. Thierry Henry, Anelka, Aubameyang, Van Persie, Adebayor, Reyes n'abalala oyinza n'obutabayita bateebi kuba ennono yaayo ebalagira okusooka okufa ku ‘kawoowo'.

Adebayor okutuuka mu bookisi n'agaba omupiira nga tekirina we kinyiiriza Wenger sso nga eri Fergie alya obuwuka.

Ku Arsenal ne ManU ani asinga okumanya omupiira? Kisinziira ku bw'otegeera ennono ya ttiimu ezo n'eruwa esinga okugituukiriza n'etuuka ku kigendererwa ekikulu mu mupiira (obuwanguzi).

kkawuma@newvision.co.ug 0772371990