Mangat avudde mu z'e Mukono lwa bizinensi

Mu kifo kya Jas Mangat eyavudde mu mpaka olwa buzinesi, Hassan Alwi yagenda okusimbulwa nga nnamba 2 emabega wa Ronald Ssebuguzi.

 Mangat ng'ava mu mmotoka ye

Wadde ng'abadde yateekamu empapula z'okwewandiisa okuvuganya mu mpaka zino, olukalala olusembayo olwafulumye nga tekuli linnya lye ekyayongedde okukakasa nti Jas Mangat tagenda kwetaba mu mpaka zino.
Okusinziira ku Joseph Kamya amusomera maapu, Mangat yafunye olugendo lwa bizinensi nga tasobola kululeka wabula yasuubizza abawagizi be nti bagenda kukomawo nga b'amaanyi kuba omwaka guno batunuulidde kuwangula ngule ya ggwanga.
Ronald Ssebuguzi y'agenda okuggulawo ekkubo, addirirwe Hassan Alwi ne Kepher Walubi mu kyokusatu. Engule y'omwaka guno ekulembeddwa Jas Mangat n'obubonero 100. Arhtur Blick ne Alwi basibaganye mu kyokubiri n'obubonero 70.