Omutindo gwa ttiimu yange gubadde mufu - Solskjaer

Bukya Solskjaer asikira Mourinho, abadde takubwangako mupiira gwa Premier.

 Lukaku owa ManU ng'agezaako okuyisa omupiira ku mukwasi wa Arsenal, Bernd Leno.

OMUTENDESI wa ManU, Ole Gunnar Solskjaer agambye nti omutindo ttiimu ye gwe yayolesezza ng'ewangulwa Arsenal ggoolo 2-0 mu Premier, gwe gukyasinze obubi bukya ajja.

Guno gwe mulundi ManU gw'esoose okuwangulwa mu Premier bukya Solskjaer asikira Jose Mourinho mu December w'omwaka oguwedde.

ManU yeevuma emikisa gye yafunye n'eremwa okugikozesa naddala ebiri Romelu Lukaku gye yafunye nga Arsenal yaakabateeba ggoolo esooka.

Wabula Solskjaer, akukkulumidde ddiifiri Jon Moss eyagabye peneti ng'agamba nti Fred yategedde Alexandre Lacazette mu ntabwe.

 olskjaer atendeka an nawa abazannyi be ebiragiro Solskjaer, atendeka ManU n'awa abazannyi be ebiragiro.

 

Okuwangulwa kuno, kusannyalazza emikisa gya ManU okumalira mu bana abasooka nga mu kiseera kino eri mu kyakutaano ku bubonero 58 ng'obuwanguzi bwa Arsenal bwagitutte mu kyokuna ku bubonero 60 nga Spurs eri mu kyokusatu egisinga akabonero kamu.

Solskjaer agamba nti wadde nga baakubiddwa, bakyalina omukisa okumalira mu bifo ebina ebisooka kuba obubonero obubaawula ne Spurs eyookusatu bukyali busatu bwokka.

ManU ezzaako kukyalira Wolves mu FA Cup ku Lwomukaaga nga balwana okwesogga fayinolo.