Joshua Cheptegei anaadduka mu z'e Qatar

Abaddusi mwenda beesunga mpaka za World Athletics Championships

 Joshua Cheptegei n'omudaali gwa zaabu gwe yawangulidde mu Denmark

NG'OKULWANIRA ennamba ku ttiimu enaakikirira Uganda mu mpaka z'ensi yonna eza ‘2019 World Athletics Championships' kukyagenda mu maaso, abaddusi mwenda bayiseemu, era balinze bannaabwe abalala okubeegattako.

Bano bonna  baayitiddemu mu Denmark, mu kibuga Aarhus wiiki bbiri emabega, mu mpaka za' Aarhus World Cross Country', Joshua Cheptegei mwe yawangulidde omudaali gwa zaabu.

Namayo Mawerere, omwogezi w'ekibiina ekitwala emisinde mu ggwanga, ekya Uganda Atheletics Federation (UAF), yagambye nti abaddusi bano bonna baatuusizza obudde bwe beetaaga okwetaba mu mpaka z'ensi yonna ezigenda okubeera  mu kibuga Doha ekya Qatar wakati wa September 27 ne October 6.

 uliet hekwel Juliet Chekwel

 

Abaayiseemu kuliko; Cheptegei, Rachael Zena Chebet, Peruth Chemutai, Juliet Chekwel, Esther Chebet, Jacob Kiplimo, Thomas Ayeko, Joel Ayeko  ne Albert Chemutai.

Abaddusi abalala abakyalwanira ennamba baakuttunka ku Lwomukaaga nga April 13 e Namboole, mu mpaka za ‘4th UAF National Track and Field Competition'. Bano bagenda kuba balwanira n'ennamba ku ttiimu erigenda mu mizannyo gya Afrika egiribeera e Morocco nga August 20.