Kitende ne Buddo zirwanira kikopo

Kitende yasemba okukiwangula mu 2015 ate Buddo esembyeyo kukiwangula mu 2017.

 Richard Basangwa owa Kitende (ku kkono) ng’alwanira omupiira ne Innocent Ronald owa Buddo ku semi.

MU 2015, St. Mary's Kitende lwe yasemba okuloza ku ssanyu ly'empaka z'amasomero ga siniya eza COPA Coca Cola.

Ku luno, erina omukisa okuddamu okufuna ku ssanyu lino wabula erina kuwangula  Jinja SS ku fayinolo ezannyibwa leero.


Jinja SS, ye yawangula ekikopo kino mu 2017 mu mpaka ezaali zitegekeddwa e Masaka kyokka ku luno eringa eri ewaayo kuba ginnaayo eya Jinja College ye yategeka empaka zino. Okutuuka ku fayinolo, St Mary's yaggyeeko Buddo SS ku semi ate nga Jinja SS yawangudde Standard High Schoolo Zzana mu mupiira ogwabaddeko n'obugombe.


Laba wano amasomero agawangudde empaka zino mu myaka 10 egisembyeyo;
2009-Buddo SS (Fort Portal)
2010-Bp Nankyama (Masaka)
2011-Kitende (Host Arua)
2012-Kitende (Host Tororo)
2013-Kitende (Host Kabale)
2014-Kibuli (Host Gulu)
2015-Kitende (Host Hoima)
2016-Kibuli (Host Soroti)
2017-Jinja SS (Host Masaka)
2018-Buddo SS (Mbarara)