Empaka z'amakolero e Jinja zinaddamu okuyinda

Empaka z'amakolero e Jinja zaakudamu okuyinda ku Ssande nga wooteeri ya Source of the Nile erwanira ebifo ebinaatangaaza emikisa gy'okuwangula ekikopo

 Abakyala nga basimbula mu misinde

Bya BRUNO MUGOODA

Ssande mu gy'amakolero

O and M Energy -- Crystal Hotel Coca-cola

Amazima School -- Source of the Nile Hotel

Pit Stop -- Nafirri

Son Fish Farm -- Hotel Paradise

Source of the Nile Hotel -- BIDCO

Grain Bulk -One petroleum -- O and M Energy

Nile Breweries -- Amazima School

BIDCO -- O and M Energy

Amazima School -- Crystal Holding Coca-cola

Amakolero 5 agakulembedde

1.  O and M Energy (13)

2.  Blink Logistics  (13)

3.  Eskom Mega Watts (9)

4.  Amazima School (9)

5.  Crystal Holdings Cocacola (8)

WOOTERI ya Source of the Nile eyingira mu mpaka z'amakolero ku Ssande, ng'enoonya buwanguzi okuva ku Amazima School ne BIDCO, esobole okudda mu bifo ebivuganya ku kikopo.

Bagenda kuttunka mu mipiira gy'amokero, egitegekebwa n'ekigendererwa ky'okugatta n'okumanyagana mu bakozi ba kkampuni ez'enjawulo okuva e Jinja. Abakozi bavuganya mu mizannyo egy'enjawulo okuli emisinde, okubaka n'emirala.

Omutendesi wa Source of the Nile, Juma Bakuba, yategeezezza nti  batendekeddwa ekimala era akakasa nti abazannyi be bwe banekkiririzaamu, obuwanguzi bajja kubufuna.

Source of the Nile eri mu kya 11 n'obubonero 4, n'eddirirwa BIDCO ku 3. O and M Energy ne Blink Logistics ze zikulembedde nga zisibaganye ku bubonero 13.