AFCON2019: Ekibalo kya Cranes

EMIKISA gya Cranes okuyitamu gikyali mingi wadde eggulo yalemaganye ne Zimbabwe (1-1).

 Desabre ne Kaddu nga bajaganya eggulo.

Bya HUSSEIN BUKENYA
 
Ssande, ssaawa 5:00
Uganda - Misiri
Zimbabwe - DR Congo
 
EMIKISA gya Cranes okuyitamu gikyali mingi wadde eggulo yalemaganye ne Zimbabwe (1-1).
Yawezezza obubonero buna ng'amaliri gokka ku Misiri ku Ssande gagitwala ku luzannya lwa ttiimu 16.
 
CRANES BYE YEETAAGA
1 Obuwanguzi ku Misiri bugiyisaawo bulambalamba nga busobola n'okugikulembeza ekibinja kuba eba n'obubonero 7.
 
2 Cranes kati erina obubonero buna. Bw'efuna amaliri ku Misiri eweza butaano era eba eyitawo waakiri mu bana abakoze obulungi mu kifo ekyokusatu.
 
3 Cranes bw'ekubwa Misiri ate Zimbabwe n'ekuba DR Congo, buli emu ebeera ku bubonero 4. Kitegeeza nti ttiimu zombi zisobola okuyitawo ng'emu egenda nga yaakubiri endala mu kyokusatu nga DR Congo evaako. Wabula Cranes bw'eba ewanguddwa Misiri terina kuteebwa ggoolo nnyingi olwo eyitiramu mu bookusatu abasinze.
 
EBIBINJA EBIRALA BIRI BITYA
Wadde obubonero obuna busobola okuyisaawo Cranes nga bwe kiri kati, wakyaliwo ekibalo kuba ne mu bibinja ebirala mulimu ttiimu ezisobola okuweza obubonero obuna. Mu kibinja E, Mali erina busatu ate Angola ne Tunisia buli omu alina kamu nga singa baawangulayo omupiira ku ebiri gye basigazza bamalako na buna.
 
Kino bwe kiri ne mu kibinja F kuba Cameroon eri ku 4, Benin ne Ghana kamu.
 
Ekibina B, nakyo mulimu Nigeria ku 6, Guinea ne Madagascar balina kamu. Ekya D, kikulembeddwa Ivory Coast ku 3, Morocco kamu sso nga Namibia ne South Afrika balina 0.