Barcelona etembeeya Coutinho

Barcelona eyagala kweggyako Coutinho nti kuba terina nnamba ye etandika

Coutinho

BARCELONA ewaddeyo Philippe Coutinho ku bbanja. Esoose kumutembeeyeza mu Arsenal n'etegeezza nti waakiri omuzannyi ono k'emubaweere ku bbanja.

Barcelona yagula Coutinho okuva mu Liverpool ku bukadde bwa pawundi 105 mu 2018 wabula akyagaanyi okummuka era aba Barcelona basazeewo bamutunde.

Balabye teri ttiimu emugula, kwe kwagala okumuwaayo ku bbanja. Basoose kumwagaliza Arsenal wabula mu kiseera kino, Arsenal esinga kwagala muzibizi okusinga omuteebi era emikisa gye egy'okugenda mu Arsenal ng'akatale tekannaggalwawo enkya ku Lwokuna, giri mu lusuubo.

Wabula Barcelona egamba nti Arsenal bw'eteemutwale, waakiri banaamuwa Spurs.