
Omutendesi wa Uganda mu rugby eya Lady Cranes, Edgar Lemeriga alangiridde ttiimu egenda okwambalagana ne Kenya mu mpaka za Women's Rugby World Cup Qualifier eziyindira e South Afrika mu Bosman Stadium. Ensiike eno yaakubaawo leero ku Lwokubiri ekiro.

"Guno mulundi gwakusatu nga tuzannya Kenya mu bbanga lya myezi ebiri era abawala be nnonze balina obuvumu obumala okweng'anga Kenya mu nsiike ya leero. Ku luno nnina essuubi nti tugenda kukola bulungi okusinga ku mulundi oguyise," Lemeriga bwe yagambye.

Faith Namugga, Yvonne Najjuma, Irene Nzige, Winnie Atyang (kapiteeni), Charity Atimango, Loy Mbabazi, Helen Gizamba, Beatrice Atim, Rosenburg kanyunyuzi, Claire Anena, Esther Tino, Peace Lekuru (amyuka kapiteeni), Asha Nakityo, Julie Nandawula ne Samiya Ayikoru.
Ku katebe kuliko; Peace Mirembe, Christine Nakayiza, Evelyne Aweku, Teddy Iwutung, Harriet Kayonjo, Agnes Nakuya, Emmanuella Oroma ne Kyoita Mary.