KCCA ne Onduparaka bawera kweraga lyaanyi

Onduparaka ne KCCA zirwanira fayinolo y'empaka za Pilsner Super 8 nga buli omu awera

 Omuzannyi wa KCCA n'owa Onduparaka nga battunka mu gwa liigi. Ku Lwokutaano KCCA ezannya Onduparaka mu semi y'empaka za Pilsner Super 8

Lwakutaano mu Pilsner Super 8

KCCA - Onduparaka, 10:00 e Lugogo

ONDUPARAKA ne KCCA zisisinkanye mu semi ya Pilsner Super 8 nga buli emu ewere kuwandula ginaayo etuuke ku fayinolo.

KCCA ewera kukuba yenna eyeekika mu kkubo lyayo ery'okweddiza ekikopo kino, sso nga Onduparaka  eyagala kukomya jjoogo lya KCCA  eyaagifuula akagoma buli lwe basisinkana mu kisaawe e Lugogo.

Sizoni ya Onduparaka eyasooka mu liigi (2016/2017) yawuttulwa KCCA ggoolo 7-0, mu yaddako ne bawangulwa 4-1, ate mu ewedde ne baakubwa 1-0.

Ku fayinolo y'ekikopo kino kyennyini omwaka oguwedde, KCCA yawangudde Onduparaga 2-0 n'esitukira kmu kikopo ky'empaka zino ekyasooka.

Lino ly'ejoogo Onduparaka ly'eyagala okukomya bwe banaaba basisinkanye ku Lwokutaano