Dortmund enywezezza Sancho

Dortmund eyongedde Sancho endagaano n'emuweerako n'omusaala omusava.

 Sancho

BORUSSIA Dortmund, enywezezza ssita waayo, Jadon Sancho, bw'emwongedde endagaano empya. Ttiimu ez'enjawulo zibadde ziperereza omuzannyi ono nga ManU ne PSG ze zibadde ku mwanjo.

Sancho, Mungereza nga wa myaka 19 era ManU ebadde emwagala emugatte ku lugoba lwayo oluteebi wabula Dortmund, n'egaana okumutunda era kwe kumwongera endagaano, n'emuteeramu omusaala gwa pawundi 190,000 buli wiiki.

Wiiki ewedde, Sancho yateekebwa mu kifo kyakutaano, mu bazannyi abato abasinga ebbeeyi ng'abalirirwamu obukadde bwa pawundi 145.

Sizoni ewedde, yateebera Dortmund ggoolo 13 ne asisiti 15 era ne ku ttiimu y'eggwanga eya Bungereza n'ayitibwa.

Sancho yasookera mu Man City bwe yali tanneegatta ku Dortmund mu 2017.