Baabano abakulembeze b'omupira FIFA b'ezzizza ne batadda ngulu

PULEZIDENTI wa FUFA Ying. Moses Magogo awalirizidda okuva ku bukulu buno olw’emisango gya tikiti za World Cup egyamuwawaabirwa mu FIFA.

 Ying Moses Magogo

Ng'aggalawo ttabamiruka wa FUFA eyatudde mu disitulikiti y'e Adjumani ku Lwomukaaga, Magogo yategeezezza abakiise abaabaddewo nti FIFA yamulagidde okuddako ebbali okumala emyezi ebiri nga bw'emunoonyerezaako ku musango ogwamuwawaabirwayo.

Mu 2017, omubaka wa Makindye West mu Palamenti, Alan Sewanyana, yaloopa Magogo mu FIFA okukozesa obubi ofiisi ya FUFA n'atunda tikiti ezali ez'okulaba World Cup eyali e Brazil mu 2014, n'aziguza abatali Bannayuganda, abaali balagirwa FIFA.

TUKULEETEDDE ABAKULEMBEZE ABAZZIDDWA KU MABBALI NE BATADDA NGULU

Sepp Blatter ng'ono ye yali akulira ekibiina ekitwala omupiira mu nsi yonna oluvannyuma lw'okuteeberezebwa okulya enguzi.

Michel Platini yavunaanibwa okulya enguzi okuva ewa Blatter eyali akulembera omupiira mu kaseera ako.

Jeffrey Webb 50 eyali amyuka omukulembeze wa FIFA ng'ate ye yali pulezidenti wa CONCACAF, abeera nga mu bizinga bya Cayman Islands.

Eugenio Figueredo ng'ono yaguzannyirako Uruguay nga yali ne ku lukiiko oluddukanya omupiira mu South Amerika.

Jack Warner yali mukulebeze wa mupiira mu CONCACAF ng'ava mu ggwanga lya Trinidad and Tobago.

Eduardo Li  Ye yali akulira omupiira mu Costa Rica.

Julio Rocha yali mukulembeze w'omupiira mu Nicaraguan.

Costas Takkas yali ssaabawandiisi w'ebizinga bya Cayman Islands.

Rafael Esquivel Yaliko omukulembeze w'omupiira mu Venezuela okuviira ddala mu 1988.

Jose Maria Marin - ye yali amyuka omukulembeze w'omupiira mu ggwanga lya Brazil.

Nicolas Leoz yali pulezidenti w'omupiira mu CONMEBOL okuviira ddala 1986 okutuuka mu 2013.

Alejandro Burzaco eyali akulira ebyamawulire mu kibiina ekitwala eby'emizanyo mu Argentine ekimanyidwa nga 'Torneos y Competencias' nga kino kyafuna olukusa olulanga emipiira gy'ensi yonna mu 2006 e Germany.

Aaron Davidson ye yali ow'ebyekikugu mu kibiina ekitwala omupiira mu North Amerika "US ne Canada".

Hugo Jinkis Ono ye yali avunaayizibwa ku bwakitunzi mu Argentina.

Mariano Jinkis ye yali amyuka omukulembeze avunaanyizibwa ku bwakitunzi mu Argentina.

Abo bonna FIFA yabalagira okudda ebbali babuulirizibweko kyokka teri yadda ku mulimu.

BIKUNG'AANYIZIDWA DEOGRATIUS KIWANUKA