Ceballos owa Arsenal akolerera kuddayo mu Real

Ceballos agamba nti yagenda mu Arsenal akole ebyafaayo atere adde mu Real Madrid afune ennamba etandika.

 Ceballos

OMUTEEBI Dani Ceballos ategeezezza nti akolerera kudda mu Real Madrid alage ensi nti alina obukodyo mu mupiira.

Ceballos yeegasse ku Arsenal mu katale k'abazannyi kano wabula nga Arsenal yamuggyirayo ku looni. Mu Arsenal, alaze nti asobola era  azannye emipira gya Premier 8.

Mu Real gye baamweyazika, yali talina nnamba era Zinedine Zidane atendeka Real n'ategeeza nti yandinoonyezaako ekibanja awalala wabula Arsenal n'emuwonya okusindiikirizibwa.

Agamba nti wadde mu Real yali taweebwa mipiira, alina okuddayo ng'afuuse kaliba kuba gy'ayagala okukolera ebyafaayo. "Najja mu Arsenal ndage nti nsobola era bwe naamala okukola ebyafaayo nga nzirayo mu Real," Ceballos bwe yategeezezza.