Bale atandise okutema empenda z'okwabulira Real

Bale agamba nti luli baamulemesa okuva mu Real Madrid nga mu katale ka January ayagala agyabulire.

 Bale (mu maaso) ng'asamba akapiira

GARETH Bale abitaddemu engatto n'ayolekera London mu Bungereza ayogeremu ne kitunzi we okulaba nga mu katale ka Janaury, afuna ttiimu ave mu Real Madrid etemulabawo.

Okusinziira ku mawulire ga Marca ag'e Spain, Bale yategeezezza kitunzi we, Jonathan Barnett okumufunira kiraabu empya. Kigambibwa nti Shanghai Shenhua ey'e China ye yeesimbye mu Bale wadde nga ne mu katale akawedde, baayagala okumugula wabula Real n'emulemera.

Wadde Bale sizoni yagitandise bulungi, eky'okumuleka ebbali mu ttiimu ya Real eyazannya Club Brugge ku ntandikwa y'omwezi guno mu Champions League kye kisinze okumunyiga n'attukiza buto eky'okuva mu Real.

Nga kati abadde mu buvune, agamba nti mu January, yandivudde mu Real.

Mu ttiimu endala ezaali zaagala okumugula, kwe kuli ne ManU wabula nga bano bagamba nti omusaala gwe bategeka okumuwa, gwakusinziira ku ky'anaaba azannye kyokka ng'e China omusaala gwayo musava. Bale wa myaka 30.