
Bya Fred Kisekka
OMUGGUNZI w'eng'uumi, Shafic Kiwanuka, ayongedde ebirungo mu kutendekebwa nga yeetegekera okuttunka n'Omuzimbabwe Dube Thamsanq.
Kiwanuka, eyakazibwaako erya ‘The Killing Machine' (ekyuuma ekissi) essira asinze kuliteeka ku kusitula bizito n'okukajjuza, ky'agamba nti kyakumuwa amaanyi agakuba Omuzimbabwe eng'uumi egenda okumwebasa ku ttaka.

Yasangiddwa Katwe ng'asituula mipiira gya tulakita ng'eno gye yaweredde bw'amaliridde okumizza omuzibabwe omusu kuba amwetegekedde.
Ababiri bakuttunkira omusipi gwa ‘WBF Heavy Weight title' nga November 29, ku International University of East Africa e Kansanga.