ManCity enoonya bassita abalala okwenyweza

OKUWANGULWA obubi Liverpool n’ebaleka obubonero 9, kizuukusizza abagagga ba Man City ne balagira omutendesi Pep Guardiola ayigge bassita basatu abazza ttiimu eno ku mutindo esigaze ekikopo kya Premier.

Liverpool yawangudde ggoolo 3-1 aba Man City ne bazuula nga yali nsobi obutafuna basika ba kapiteeni Vincent Kompany, David Silva n'omuteebi Kun Aguero.

Kompany yagenda mu Anderlecht, Silva akuliridde era akoma sizoni eno okuzannyira Man City, sso nga Aguero talina muteebi mulungi aziba ddibu lye omupiira bwe guba gumufiiriridde oba ng'alwadde.

Kigambibwa nti abagagga ba Man City bataddewo pawundi obukadde 100 okuwa Guardiola agule bassita basatu mu katale ka January.