Ebya Ronaldo okukolwako sabusityuti biranze

Ebya Cristiano Ronaldo okukolwako sabusityuti n’agenda butereevu mu kasenge mu kifo ky’okutuula ne banne ku katebe biranze, abakungu ba Juventus bwe bamulagidde yeetondere bazannyi banne n’omutendesi Maurizio Sarri.

Ronaldo yaggyiddwa mu kisaawe nga bawangula AC Milan (1-0) ku Ssande n'agenderawo mu kasenge, ekikolwa ekitaputibwa ng'okuyisa amaaso mu bazannyi bano n'obutawa ttiimu kitiibwa.

Paulo Dybala eyamusikira, ye yateebye ggoolo eno ekyongera okulaga nti omutendesi Sarri by'akola abitegeera.

Ronaldo yabadde asuubirwa okubonerezebwa ng'atanzibwa kyokka aba Juventus baamusonyiwe ne bamussaako akakwakkulizo ka kwetondera ttiimu.