Omutendesi wa Algeria tamatira Benzema

Ssita wa Real Madrid, Karim Benzema gy’abadde asuubira abalamuzi asanzeeyo bassi.

Omuteebi ono yasabye FIFA emukkirize azannyire Algeria bwe kiba ng'ensi ye Bufalansa egaanyi okumuzza mu ttiimu y'eggwanga.

Wabula omutendesi wa Algeria, Djamel Belmadi oluwulidde bino n'amutegeeza nti talina kifo mu ttiimu ye.

"Karim talina w'azannya mu ttiimu yange. Buli mwana mmumatira era abeere mugezi yeegayirire Bufalansa emuddiremu gy'ayinza okufuna ennamba," Belmadi bwe yategeezezza.

 ggwanga  abula omutendesi wa lgeria jamel elmadi Oggwanga. Wabula omutendesi wa Algeria, Djamel Belmadi

 

Algeria ng'eri wansi wa Belmadi yawangula ekikopo kya Afrika bwe yakuba Senegal (1-0) ku fayinolo e Misiri mu June w'omwaka guno.

Benzema yakoma okuzannyira Bufalansa mu 2015 oluvannyuma lw'okuzuulwa nga yakabassanya omuwala atanneetuuka. Bazadde be nzaalwa z'e Algeria kyokka yakyusa obutuuze n'afuuka Mufalansa olw'okuba gye yakulira.