Mourinho nkola nkadde

Agava mu Arsenal ne Tottenham (Spurs) galaga nti ekikyasibye ttiimu ezo okukansa Jose Mourinho ye ndowooza nti y’omu ku batendesi enkola enkadde.

 Mourinho

Mourinho 56, yawangula liigi ez'enjawulo mu Bungereza, Yitale ne Spain ssaako Champions League ng'ali ne FC Porto ne Inter Milan wabula abamu bamukubamu ebituli nti obukodyo bwe n'obukulembeze bwe bukadde nnyo obutakyagya mu mulembe guno ogwa tekinologiya n'okutambuliza ensonga ku mikutu gya ‘social media'.

Bajuliza nti mutendesi atanyigirwa mu nnoga era kizibu omuzannyi okumulaba mu kamwa nti kyokka azibuwalirwa okubeera n'abazannyi b'omulembe guno abasiiba ku masimu n'okwogerera ku ‘social media'.

Kino nti kye kyasinga okumulemesa mu ManU nga buli kiseera agugulana ne bassita nga Paul Pogba, abeemulisa ennyo ku ‘social media'.

Spurs erowooza ku Mourinho asikire Mauricio Pochettino alemeddwa okusitula ttiimu eno sso nga ne Arsenal erabika ng'ezitooweredde Unai Emery nga kigambibwa nti waakugobwa singa tagitwala mu Champions League sizoni ejja.