Mourinho alangiriddwa ku gw'okutendeka Spurs

Kyaddaaki ssentebe wa Tottenham (Spurs), Daniel Levy yakutte ku mmanduso n’agoba omutendesi Mauricio Pochettino olwa kye yayise ‘okukola obubi ennyo ku kisaawe’.

Jose Mourinho, eyagobwa mu ManU mu December w'omwaka oguwedde asikidde Pochettino, eyatuusa Spurs ku fayinolo ya Champions League sizoni ewedde.

Kino kiddiridde ssentebe wa Tottenham (Spurs), Daniel Levy yakutte ku mmanduso n'agoba omutendesi Mauricio Pochettino olwa kye yayise ‘okukola obubi ennyo ku kisaawe'.

Spurs ya 14 mu Premier eya ttiimu 20 nga tennawangula mupiira gwa Premier gwonna ku bugenyi omwaka guno ate ng'erina obubonero 14 mu mipiira 12.

Okugobwa kwa Pochettino kigambibwa nti kusinze kuva ku kulemwa kukwatagana na bazannyi baayo nga bassita bangi tebakyabuuzaganya.

Bano kigambibwa nti kuliko; Christian Eriksen, Jan Vertoghen, Toby Alderweireld, Sergie Aurier ne Danny Rose.