Sentamu ne Van Pee beerisizza enfuufu mu ddigi

Fortune Sentamu ne kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga eya ddigi, Maxime Van Pee beeraze ttaaci mu mpaka za ddigi

 Fortune Sentamu ng'abuusizza ddigi mu bbanga

ENDUULU yabuutikidde ekisaawe ky'e Garuga nga Fortune Sentamu ayiribya kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga, Maxim Van Pee mu mpaka ezaggaddewo kalenda ya ddigi eza Mountain Dew Motorcross Championship laawuundi eyoomusanvu.

Baakwataganye mu lukontana olwokusatu, oluvannyuma lwa Sentamu okumalako enkontana ez'omutendera gwe (MX125)  ne yeegatta ku mutendera ogwa bakafulu, okwongera okussaawo okuvuganya.

 kuva ku kkono ye ascal asoziiguel atende ne illiam lick Okuva ku kkono ye Pascal Kasozi,Miguel Katende ne William Blick

 

Sentamu olwegasse ku mutendera guno, abawagizi be ne bawaga nga bagamba nti obwedda Van Pee ayisa mu jjejje kkalu n'abavuzi abakadde nga balindiridde okulaba we babbinkana.

Obwedda Sentamu akola obusolosolo mu bbanga n'atuusa n'okubuusa ddigi mu miti saako okukuba Van Pee amataala, ekintu ekyaleetedde abawagizi be okwebuuza bulijjo gyakwese omutindo guno.

 sabella lick kyampiyoni wa bawala ngali ne bigail wangala Isabella Blick kyampiyoni wa bawala ng'ali ne Abigail Mwangala

 

Abawanguzi okuva mu mitendera egy'enjawulo kuliko; Ashrah Mbabazi Jr (MX50Jr), Miguel Katende (MX50cc), Gift Ssebuguzi (MX65cc), Waleed Ali Omar (MX85cc), Isabella Blick (65cc), Aminah Zawedde (MX85cc), Wazir Ali Omar (125), Sharifa Kateete (125) ne Maxim Van Pee (MX1).