Mourinho yayagadde kwebbulula - Gary Neville

Eyali ssita wa ManU nga kati ayogera ku mupiira ku ttivvi, Gary Neville agambye nti omutendesi Jose Mourinho tayagalangako Spurs wabula yayagadde kubbulula linnya lye erigudde ennyo olw’okugobwa mu Chelsea ne ManU.

Yagasseeko nti, "Mourinho gwe mmanyi obulungi ng'ayokya tayinza kukkiriza ttiimu nga Spurs naye yeesanze mu mbeera ng'agudde nnyo era kati anoonya kudda ngulu."

Wiiki ewedde, Spurs yakansizza Mourinho okusikira Mauricio Pochettino eyalemeddwa okusitula ttiimu eno nga yabuliddwa obuwanguzi mu Premier ku bugenyi okuva mu January.

Mourinho yatandise bulungi egya Spurs bwe baawangudde West Ham ggoolo 3-2 ku bugenyi ku Lwomukaaga.