Ljungberg mumativu okutuusa Arsenal mu bana abasooka

Arsenal yaakamala emipiira mukaaga egiddiring'ana nga tewangula ekyaviiriddeko omutendesi Unai Emery okukwatibwa ku nkoona.

 Tom Trybull owa Norwich (ku ddyo) ng'alemesa Aubameyang okuyisaawo omupiira.

OMUTENDESI wa Arsenal ow'ekiseera, Freddie Ljungberg agambye nti ttiimu ye ekyasobolera ddala okumalira mu bifo ebina ebisooka.

Wadde nga Arsenal yalemaganye ne Norwich ggoolo 2-2, Ljungberga agamba nti balina obusobozi obuwangula emipiira egibulayo bamalire mu bifo ebina ebisooka.

Omupiira gwa Norwich gwawezezza omupiira ogwomukaaga oguddiring'ana Arsenal gw'emaze nga tewangula era guno gwe mulundi gw'ekyasinze okukola obubi okuva mu 1975.

 jungberg omutendesi wa rsenal Ljungberg, omutendesi wa Arsenal.

 

Arsenal eri mu kaweefube wa kunoonya musika wa Unai Emery wa nkalakkalira era abakulu bali mu kutuula bufoofofo okulaba nga bafuna omutendesi omulungi anazza ttiimu eno ku ntikko.

Pierre Aubameyang yateebye ggoolo bbiri kyokka tezaabayambye kuwangula mupiira gwa Norwich.

Bukya sizoni eno etandika, Arsenal yaakawangula omupiira gumu gwokka ku bugenyi ekimu ku biviiriddeko omutindo gwayo okukka.

Ku Lwokusatu, yaakukyaza Brighton mu kaweefube gw'eriko okulaba ng'erwana okudda mu bana abasooka.