Kiwalabye awangudde Omutanzania mu gwa Afrika

Frank Kiwalabye oluwangudde omusipi gwa Africa n'alangirira bwakolerera ogw'e nsi yonna

 Frank Kiwalabye (ku kkono) ng'atimpula Fadhili Chamile okuva e Tanzania.

Olulwana lwa Africa UBO:

Frank Kiwalabye (Ug) bt Fadhili Chamile (TZ) - K.O

Emisipi gya Uganda:

Juma Waiswa bt Ken Lukyamuzi - 286-285

Ronald Miiro bt Mustafa Mongolia - K.O

Ebirala:

Medi Kabona (Ug) bt Abdallah Lunja (TZ)- K.O.

Mohammed Ali Serunkuma bt Godfrey Kyawa Omu 3-0.

Samuel Muloko (DRC) bt Ntumwa Sinoba - TKO.

Ivan Magumba bt Frank Ngobi - TKO

Khalifan Bududa bt Ayub Wakasadha - TKO

Umar Mukiibi bt Abdul Kiyemba 120-105

Frank Kiwalabye atandise okutuukiriza ekirooto kye eky'okuwangula omusipi gw'ensi yonna mu bikonde ng'asinzira mu Uganda bwe yakubye Fadhili Chamile owa Tanzania ekikonde ‘tonziriranga' mu lukontana olwokusatu.

Yawangudde omusipi gwa Universal Boxing Organization (UBO) ogw'obuzito bwa Bantam (kkiro 54) n'agamba nti kati ayagala gwa Africa Boxing Union (ABU) ogusinga obuganzi ayingire mu basoomooza engule za World Boxing Council (WBC).

 iwalabye nemisipi Kiwalabye n'emisipi

 

"Omulenzi teyabadde mwangu era nasooka kumutya olwa likoda ye ng'azannyiddeko ne mu Bulaaya. Wabula olwamusomye mu laawunda esooka ng'akyusakyusa amagulu ate ng'olubuto lunafu ne nfuna oluwenda era ne mmanya nti tajja kumalako laawunda 10. Kati nninze bantegekera gwa ABU", Kiwalabye bwe yategeezezza.

Kati alina enwana 20 kw'awangudde 18 ng'awanguddwa bbiri, sso nga Fadhili alina ennwaana 14 kw'awanguddwa 7 ng'awangudde 5 n'alemagana 2.