Fayinolo ya liigi mu basketball w'abakazi ejulidde luzannya lusembayo

By

Flavia Aketcho kapiteeni wa JKL ne Sarah Ageno owa UCU buli omu awera kulemesa munne kikopo.

 Muhayimina Namuwaya JKL Dolphins (wakati) ng'ayisa omupiira mu bazannyi ba UCU Lady Canons ku Ssande ekiro.

JKL Lady Dolphins etuuyanye okulemesa UCU Lady Canons okutwalira ekikopo kya basketball sizoni eno ku luzannya olwomukaaga kw'ezo omusanvu ze balina okuzannya mu fayinolo y'omwaka guno.

Ku Ssande, abawala ba JKL baavudde mabega okuwangula n'enjawulo y'akabonero kamu.

Baanywesezza obugoba 51-50 ate nga UCU Lady Canons ye yasoose okubakulembera mu bitundu by'omuzannyo ebisatu ebisooka (15-15, 15-5, 11-7) wabula mu kitundu (‘quarter') ekisembayo esembayo JKL Dolphins baggyeeyo n'ag'omu buto ne banywesa obubonero (24-9).

Guno gwabadde muzannyo gwamukaaga kw'egyo omusanvu gye balina okuzannya ku fayinolo y'omwaka guno nga kati bonna benkanya wiini 3-3.

Ku lwokusatu lwa wiiki eno ekibanyi kyakugwa n'amenvu nga battunka mu luzannya olusalawo ani kyampiyoni.

Flavia Aketcho, kapiteeni wa JKL agamba nti amaanyi bagenda kugongera mu kuzibira okusobola okweddiza ekikopo kino.

"Ekisenge tulina okukyongeramu enkokoto okulaba ng'emipiira gya UCU tegiyitawo bwe tuba baakufuna buwanguzi," Aketcho bwe yategeezezza.

"Ekikopo tubadde tukiwangudde naye ensobi entono ze tukoze zitulemesezza, naye ku Lwokusatu bajja tubendegera," Sarah Ageno kapiteeni wa UCU Lady Canons bwe yaweze.

Stella Oyella owa JKL ye yabadde omuzannyi w'olunaku, yawangudde emitwalo 10. UCU Lady Canons enoonya kikopo kyamwenda ate JKL abakirina baagala kyakubiri.