BUL ekansizza Tabu

Oluvannyuma lw’okumala emyezi 4 nga Onduparaka temusasula, Tabu yagyabulidde n’agenda mu BUL FC.

 Tabu ng'akyali mu URA.

BUL FC ekansizza eyaliko ssita wa SC Villa, URA FC ne Onduparaka FC, Vitalis Tabu okwongera okwenywezza nga bavuganya ku kikopo sizoni eno.

 abu waaberedde mu nduparaka Tabu waaberedde mu Onduparaka.

 

Tabu yeegatta ku Onduparaka FC ng'ava mu URA ku ntadikwa ya sizoni eno 2019-2020 oluvannyuma lw'endagaano ye okugwaako. Wabula oluvannyuma lw'okumala emyezi 4 nga Onduparaka temusasula, Tabu yagyabulidde n'agenda mu BUL FC.

 abu  ngali mu illa Tabu ng'ali mu Villa.

 

BUL egulawo oluzannya olwokubiri nga battunka ne Bright Stars ku Lwokutaano luno. BUL y'emu ku ttiimu eziraze omutindo omulundi sizoni eno nga bali mu kyakusatu n'obubonwero 29 okuva mu mipiira 15.

Mu ngeri y'emu, BUL eyogereza abazannyi ba Tooro United; Fredrick Kigozi ne Godfrey Lwesibawa.