
KCCA 1-0 Mbarara City
ABAWAGIZI ba KCCA FC babinuse masejjere e Lugogo bwe baawangudde Mbarara City (1-0) ne beeyambula ekikwa kye baludde nakyo ku ttiimu y'omu bugwanjuba eno.
Ggoolo y'omuzibizi Filbert Obenchan mu ddakiika eya 51 ye yawadde KCCA obuwanguzi n'egyongera n'essuubi ly'okweddiza ekikopo kya liigi.

Mu nsisinkano omukaaga (6) ez'emabega, Mbarara ekubyemu KCCA emu ate endala 5 ziggweeredde mu maliri. Mbarara evudde mu kisaawe nga yeevuma emikisa gy'esubiddwa.
Guno gwe mupiira ogusoose eri ttiimu zombi mu luzannya olwokubiri olwa liigi ya babinywera (StarTimes Uganda Premier League). Allan Okello ne Mustafa Kizza omupiira guno tebaguzannye nga kigambibwa nti omutendesi Mike Mutebi yatandise okwetegekera embeera nga tebali mu ttiimu eno. Okello ne Mustafa bakyaagannyi okukkanya ku ndagaano zaabwe empya ne KCCA