Uganda ekubya Ethiopia

Bamusaayimuto ba Uganda abawala abacanga akapiira ek’ebigere bawadde abawagizi essanyu bwe bawangudde Ethiopia ggoolo 2-0 mu luzannya olusoose olw’okusunsula abanaazannya World Cup y’abali wansi w’emyaka 17 omwaka guno.

FIFA U-17 GIRLS WORLD CUP QUALIFIER:

Oluzannya Olusooka:

Uganda 2-0 Ethiopia

Babadde ku kisaawe eky'ekiwempe ekya StarTimes Stadium e Lugogo.

Kapiteeni Juliet Nalukenge y'asoose okulengera akatimba mu ddakiika eyokutaano bw'atomedde omupiira ogulemye omukwasi wa Ethiopia Foziya Zenabu okukwata.

Mu ddakiika eye 85, Catherine Nagadya ateebedde Uganda ggoolo ey'okubiri essizza emitima gy'abawagizi egibadde gyewanise olw'enzannya ya Ethiopia ebadde esukkulumye ku ya bakabakyaza.

Omutendesi wa Uganda Ayub Khalifa agambye nti kituufu aba Ethiopia batadde Uganda ku bunkenke wabula ng'ekisinga obukulu kwe kuwangula omuzannyo.

"Baanyomye ate nga ttiimu eyo tetugisambangako. Wabula kati mu kudding'ana bajja kugenda nga bategedde nti nzibu. Tugenda n'okugolola ensobi n'okweyongera ku sitamina", Khalifa bw'ategeezezza bannamawulire.

Ttiimu zidding'ana January 24 mu Ethiopia.

 

 

 

 

 

 

 

alt=''