Etteeka lya basketball epya lireese enkyukakyuka mu team ya KIU Titans

By

Etteeka lya basketball epya lireese enkyukakyuka mu team ya KIU Titans

OLUVANNYUMA lw'ekibiina ekifuga omuzannyo gwa Basketball mu ggwanga(FUBA)okuyisa etteeka nti season empya teri ttiimu egenda kukkirizibwa kuzannyisa bazannyi bagwiira abasukka mu bana, KIU Titans basazeeko abazannyi bataano.

Denis Balungu(DRC), Sudi Ulanga(Tanzania),Brian Ssentongo(Uganda), Oscar Muge(Kenya), Ettiene Kazungu Ntwali(DRC) be baasaliddwako okukendeeza ku muwendo gw'abagwiira mukaaga ababadde ku ttiimu, kati kusigaddeko babiri( Micheal Bwanga(DRC) ne Collins Kasujja(Kenya).

Nasser Sserunjogi omuyima wa KIU Titans agamba nti kino bakikoze olw'ensonga nti baagala okuwa omukisa ebitone ebito ate bano babadde bakuze ng'omutindo gwabwe tegukyeyongerako nnyo.

"Twagala kuzimba ttiimu kabiriiti ng'esingamu baana bato okusobola okuvuganya ku bikopo," Sserunjogi bwe yakakasizza.

Titans sizoni ewedde baawandukidde ku "quarter'  nga Kyambogo Worriors yeebakuba(2-1)