William Blick alaze okutya olw'abavuzi ba Ddigi okweyawulamu

William Blick alaze okutya olw'abavuzi ba Ddigi okweyawulamu

 William Blick

PULEZIDENTI w'akakiiko akavunanyizibwa ku mizannyo gya Olympics mu Uganda aka Uganda Olympic Committee (UOC) William Blick alaze okutya nti Uganda yandiwerwa mu kibiina ekiddukanya omuzannyo guno mu nsi yonna ekya FIM olw'akawayi akamu okwekutulako okukola ekibiina ekyetongodde.

Agambye era nti ne gavumenti ng'eyita mu kakiiko akavunanyizibwa ku mizannyo aka National Council of Sports (NCS) eyinza okuwera abadigi ate nge kye kimu ku bibiina ebibadde bisinga okuddukanyizibwa obulungi mu ggwanga.

Blick abadde ayogerera ku lukiiko lwa bannamawulire ku kitebe kya UOC aba FMU gye batongolezza empaka za FMU ezigguddewo kalenda ya 2020 ezinabeera e Garuga ku Victoria Raceway Park ku Ssande.

"Kati njogera ng'omukulembeze w'emizannyo. Kya nnaku okulaba nti embera eno etuuse ku muzannyo gwa digi. Bandibadde basooka kwebuuza ne batakola buyeekera kubanga bagenze ne bakola endagaano n'amakkampuni agavuganya n'ago agateeka ensimbi mu FMU okugeza Coca Cola ate ne bategeka empaka e Busiika mu kiseera kye kimu nga ne FMU etegese Mbarara Rally," William Blick bwe yategeezezza.

Ayogedde ne ku ssente obukadde 300 aba FMU ze babadde basuubira okuva mu gavumenti bwe zoolekedde okusazibwamu.

Avumiridde n'embeera akabiina akeekutuddeko gye kakulembeza nti aba famire ya Blick beekulembeza mu muzanno gwa digi era nti be baalemesezza abakulembeze ku ludda lwabwe okuyitamu mu kulonde okwabaddewo omwezi oguwedde abadde pulezidenti Dusman Okee mwe yawanguliddwa.

"Toyinza kuleeta bya famire mu mizannyo," William Blick bwe yategeezezza.

Ate Arthur Blick ategeezezza nti Uganda yandisazibwamu kubanga ebadde eweereddwa omukisa okutegeka empaka za Africa eza digi ze yakoma okutegeka mu 2012.

"Empaka za Africa zoolekedde okutufa. Amawanga amalala gabadde gatwegomba era okwekutulamu kijja kufiiriza nnyo eggwanga. Omuzannyo mbaddewo nga tugutumbula kati emyaka 20 naye kya nnaku okulaba nga gusasima mu myaka ebiri yokka," Arthur Blick bwe yategeezezza.

Okukkakkanya embeera, Pulezidenti wa FMU, Dipu Ruparelia agambye ayimirizza ekiragiro ky eyabadde ayisizza nti abavuzi ba digi bonna abeetabye mu mpake ezaategekeddwa akabiina ekeekutuddeko bawereddwa n'agamba nti okusalawo kujja kukolebwa kibiina kya FMU kyonna era n'abakubiriza okujjumbira okuteesa okwa February 25.