Engeri eby'obulamu gye bigenda okunywezebwamu ku misinde gya Kabaka

Engeri eby'obulamu gye bigenda okunywezebwamu ku misinde gya Kabaka

ABATEGESI b'emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka bafulumizza enteekateeka mwe bagenda okuyita okunyweza eby'obulamu lweginabeerawo nga April 5,2020 mu lubiri e Mmengo.
 
Bwabadde ayogerako ne Ronald Kawadwa nga y'akulira Majestic Brands,ekitongole ekivunanyizibwa ku nteekateeka y'emisinde gino ategeezezza nga bwebali mu kwogerezeganya n'ebitongole by'ebyobulamu mu ggwanga okulaba ng'abantu bayita bulungi mu misinde gino.
 
"Tugenda kufuna Ebimmotoka bya UNRA ebiyiwa amazzi amangi kisobozese abantu bangi abajja nga basobola okunaaba ebitundu by'omubiri byonna,okukuuma obuyonjo," Kawaddwa bweyategezezza.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ku ddyo, akulira ba kitunzai ba Vision group mukyala Muttu n'omukyaka w'atuukirwako amawulire mu lupapula lwa Bukedde

 
Emisinde gino giwagirwa Bukedde afulumizibwa Vision Group,Airtel, DFCU Bank,emikutu gy'Obwakabaka egy'empuliziganya,Events warehouse ne bannamikago abalala n'ekigendererwa ky'okukwatira ku Bwakabaka okubunyisa amawulire n'okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya obufuuse ekyonga.
 
Mu ngeri y'emu bakolaganye ne minisitule y'ebyobulamu mu gavumenti eyawakati ng'eno yawaddeyo abantu 150 abagenda okubeera ku mulimu gw'okuwa abantu obuddagala obwesigwa mu ngalo era mu kaweefube w'okwetangira obulwadde bwa ssenyiga w'e China.
 
"Munda mu Lubiri tugenda kuteekamu weema  omugenda okubeera eddagala erinaweebwa mu ngalo okukuuma abantu nga balamu. Kabuyonjo ezigenda okuleetebwa buli emu twategezeddwa nti erina  okukozesebwa abantu 20 nekiba nga tugenda kuteekawo zi kabuyonjo 300," Kawaddwa bweyanyonyodde.
 
Guno gugenda kubeera mwaka gwa musanvu ng'emisinde gino gitegekebwa era okugyenyigiramu ku mulundi guno omujoozi n'ebigenderako bigulibwa 15,000/- era nga gisangibwa e Bulange- Mmengo,ku kitebe kya Vision Group mu kibangirizi kya bannamakolero,amadduka ga Airtel okuli eriri ku Thoban Centre ku luguudo Kampala,Ben Kiwanuka n'amalala.