Baabano abazzeeyo okutendeka ttiimu mwe baazannyira

Baabano abazzeeyo okutendeka ttiimu mwe baazannyira

 George Nsimbe

LEERO katukube ttooci mu batendesi ab'enjawulo ababaddeko mu mitambo gya kiraabu ez'enjawulo nga bazicangiramu endiba ne bakunakkuna;

PAUL EDWIN HASULE, SC Villa Mu byafaayo bya Villa, teri mutendesi oba muzannyi akyasinze mugenzi Hasule okugikolera ebirungi kuba yawangula ebikopo bya liigi 8 (1982,1984,1986,1986, 1988, 1989, 1990, 1992) nga omuzannyi ate mu 1998 yalya obutendesi n'awangula liigi emirundi 4 (1998, 1999, 2000, 2001).

JACKSON MAYANJA, KCC FC Atwalibwa okuba omu ku bazannyi abakyasinze okusamba omupiira omuyonjo mu Uganda. Yasambira KCC FC mu gy'e 80 ne 90 n'amatiza. Ye yali kapiteni waayo ng'ewangula liigi mu 1997 kye yali emaze emyaka 6 nga tetwala. Yagitendekako mu 2005 naye tebyatambula bulungi.

MOSES NSEREKO, KCC FC Mu biseera bye ng'omusambi mu KCC FC mu gy'e 70, yakazibwako lya 'Kisolokyamaanyi' olw'amaanyi amangi geyakozesanga ng'ayita mu makkati era yayaka nnyo mu liigi ya 1974. Bwe yannyuka n'agitendeka era mu 1981 baawangula liigi n'afuuka omutendesi akyasinze obuto okuwangula empaka zino ku myaka 29.

SULA KATO, SC Villa Yaggyibwa mu Masaka Union mu 1983 era omupiira yagukuba n'agunoza. Ye yali omutendesi wa SC Villa ng'ewangula 'Kakungulu Cup' mu 2008.

GEORGE SIMWOGERERE, Express Yeegatta ku Express mu 1987 okuva mu Gomba Motors FC n'agikubira okutuusa mu 2001. Ye yali kapiteeni waayo wakati wa 1992-2001. Yagitendekako mu 2006, 2007 ne 2019.

MOSES BASENA, SC Villa Asinga kujjukirwako ggoolo ey'omutwe gye yakuba ASEC Mimosas eya Ivory Coast nga bagwa amaliri (1-1) e Nakivubo mu 1994. Yatendeka Villa mu 2002 ate oluvannyuma n'amyuka Micho Sredojevich.

MIKE HILLARY MUTEBI, KCC FC Mu 1993, KCC FC yamuggya mu Bell FC naye omupiira teyagulwako olw'obuvune mu vviivi era yagunnyukira ku myaka 29. Yasooka kugitendeka mu 1996 n'alekulira mu 1997 nga liigi ebuzaako emyezi mibale. Yakomawo n'atwala ebikopo mu 2016, 2017 ne 2019 era y'agiri mu mitambo.

DAVID OTTI, Coffee SC Yagyegattako mu 1965 ng'ava mu Bitumastic FC, eyali esaanyeewo, n'agitendekako mu 1970 nga Jimmy Semugabi Bakyayita agenze ku misomo ate mu 1974-78 ye yali omutendesi omujjuvu.

RICHARD MAKUMBI, Buikwe Red Stars Mu 1988, Makumbi eyali omuzibizi, yayabulira Express ne yeegatta ku Buikwe Red Stars. Eno yagitendeka wakati wa 2002-2004 n'agiyingiza 'Super'.

NSIMBE GEORGE, KCC FC Yeesogga KCC FC mu 1985 ng'ava mu NIC FC n'agiyamba okuwangula liigi wansi w'omutendesi Moses Nsereko. Yagiyamba okuwangula liigi mu 1991 ne Uganda Cup mu 1990. Mu 2008, yagitendeka ne bawangula liigi. Yadda mu 2013 ne 2014 n'atwala liigi ate URA n'ebakuba ku fayiyolo ya Uganda Cup.

ROBERT KIBERU, Express Y'omu ku basambi abaali ne Express FC mu 1964 ate omugenzi Jolly Joe Kiwanuka bwe yatemulwa mu 1973, ne bagimukwasa mu 1974 okutuusa mu 1977 bwe yaddukira e Kenya. Ye mutendesi eyasooka okuwangulira Express ebikopo bya liigi (1974 ne 1975).

TOM LWANGA, KCC FC Yali muzibizi mu KCC FC mu gy'e 70 n'agiwangulira ebikopo mu 1991 ne 1997 nga omutendesi. ASHE MUKASA, Express FC Mu byafaayo by'omupiira gwa Uganda ,atwalibwa ng'akyasinze okusamba nnamba 3. Yasambira Express ate mu 1979 n'agitendeka ng'ezze mu liigi. JIMMY MUGUWA, Express Yava mu UCB mu 1982 n'alondebwa nga kapiteeni wa Express mu 1983 ne 1984. Okuwangula liigi ne Uganda Cup mu 1995 ne 1996, ye yali omutendesi okutuusa bwe baamusikiza Dragan Popadic. Yakomawo mu 2002 naye ne 'bimulya'.

FRED KAJOBA, Simba Yali ggoolokipa wa Coffee SC ne Simba FC mu gy'e 90 ate mu 2011 nga Simba ewangula Kakungulu Cup ye yali omutendesi.

SAM TIMBE, Coffee SC Yagikwatira ggoolo wakati wa 1973-1983 ng'ava mu Gangama ey'e Mbale. Mu 1985 yasikira omutendesi Charles Omigi ng'agenze ku misomo.

ABDALLAH MUBIRU, KCC FC Yagyegattako mu 1996 okuva mu SC Villa era yali mu KCC FC eyawangula liigi mu 1997. Mu 2014 yagikwatamu nga omutendesi ng'asikira George Nsimbe. DENIS OBUA, Police FC Yeegatta ku Police mu 1968 ng'ava mu Coffee era mu 1977 ye yakulembera abateebi ne ggoolo 24. Mu gy'e 90 yadda mu mitambo gyayo nga omutendesi n'agikomyawo mu 'Super'.

GODFREY NYOLA, Express Yava mu Nytil nga omuzibizi mu gy'e 90 naye omupiira yagunnyuka bukyali olw'obuvune Yasooka okutendeka Express mu 1999 ng'asikira Abo Koroma, ne mu 2000 ng'asikira Munnakenya Rashid Shedu ne mu 2001 ng'asikira Asuman Lubowa.