Abazannyi okuwummulamu banywe ku mazzi mu Uganda tekyetaagisa

EMPAKA z'omupiira mu nsi yonna zirina okugoberera amateeka g'omuzannyo guno. Wabula buli kibiina ekiguddukanya mu buli ggwanga kirina obuyinza obukola amateeka agaddukanyizibwako empaka ez'enjawulo. Premier, z'empaka ze nkyalabye baddiifiri mwe batatiira kugatta ddakiika zoonooneddwa, ku zizannyiddwa.





Ebiseera ebisinga ng'omuzannyo gugenda okukyuka batera okugattako eddakiika nga bbiri oba okusingawo, wabula mu kitundu ekyokubiri batera kuva ku nnya okudda waggulu.

Mu bitabaddeewo ebyongeddwa mu kugatta eddakiika mu mpaka zino, y'eddakiika emu eyateereddwaamu okunywa ku mazzi okuweweeza ku mimiro gy'abazannyi. Kati wano we wali enjawulo ku mateeka agaddukanya empaka.

CAF ne FIFA, baasalawo eddakiika eno kukola luvannyuma lw'eddakiika 30 ate mu kitundu ekyokubiri, bazannyako eddakiika 15 ne baddamu okuyimiriza okwevubiriza ne baddamu okuzannya eddakiika 30.

Mu Bungereza baasazeewo kuyimiriza mu makkati ga buli kitundu (z'eddakiika nga 23 ne 68). Mu nsi omuli ebbugumu erisusse, abazannyi baweebwa okuva ku ddakiika emu n'ekitundu okutuuka ku ssatu, emibiri okukkakkanako. Kino kya njawulo n'eddakiika emu ey'okunywa ku mazzi.

Wano ewaffe, akakiiko akaddukanya empaka awamu n'aka baddiifiri, twakkaanya nti ago amateeka tetugeetaaga kuba tetulina kitundu mu ggwanga kirina bbugumu lisusse nga kyetaagisa okuyimiriza omuzannyo. Awo tuba ng'ababongera ekyejo.

Mu birala ebyongezesezza eddakiika mu muzannyo ng'obudde buweddeyo, mulimu, abazannyi okulumizibwa abasawo ne bayingira okubeekebejja, olumu n'okubafulumya, okukola sabusityuti, akaseera ddiifiri mw'alagira kaadi, abazannyi mwe bamalira obudde mu bugenderevu, ku bakozesa VAR, ezo nazo eddakiika zigattibwako.

Kye tulina okumanya nti eddakiika eziragibwa ddiifiri ow'oku katebe, ddiifiri owa wakati y'azisalawo era n'azimulaga. Ezo z'eddakiika entono ddala kw'atandikira okumaliriza omuzannyo.

Etteeka limukkiriza okuzongerako nga bw'aba alabye. Mu muzannyo ogwetaaga omuwanguzi, bwe guggwa amaliri ne gugenda mu 'extra time', eddakiika zonna ezizannyibwa, (ezitasukka 15 buli kitundu), ne wano etteeka ly'okugattako eddakiika, likozesebwa. alitomusange@yahoo.com 0772624258