
Okujulira kwazo zaakututte mu kakiiko ka FUFA akajulirwamu nga zaagala eby'okubazza mu ‘Big League' bisazibwemu, liigi ya babinywera eddemu okumalayo emipiira egitaazannyibwa. Kiddiridde FUFA okusazaamu liigi nga buli ttiimu ekyabuzaayo emipiira etaano olw'ekirwadde kya corona.
Maroons, Tooro United ne Proline ezaali mu bifo ebisatu ebisembayo zaasalwako ate Vipers eyali ekulembedde n'erangirirwa ku bwakyampiyoni.
Ssentebe wa Maroons, Moses Kakungulu ne Alice Namatovu akulira Tooro United be baajulidde ku ky'okubasalako.
Mu bbaluwa gye baawandiikidde akulira emirimu mu FUFA (Edgar Watson), abakungu bano bagamba nti FUFA yakozesa obwannakyemalira okusazaamu liigi nga teyeebuuzizza ku kiraabu nga yeekwasa corona kyokka ate n'erekawo emipiira gya Uganda Cup ne ‘play-Offs' endala.
Bongerako nti FUFA terina mutima gwa mizannyo era terina bwenkanya kuba teyalinda kulaba oba corona asobola okuggwaawo.