KCCA FC ereese ba musaayimuto babiri okwenyweza

KCCA FC eyongedde okuggumira bw’eyongedde abazannyi bamusaayimuto babiri mu nkambi nga beetegekera sizoni ebindabinda okutandika 2020/21.

Musaayimuto Andrew Kawooya




Ku Ssande September 13,2020, bboodi ya KCCA yalangiridde Moses Kalanzi 23,eyasaliddwaako  okuva mu Bolkhus FC eya Denmark ne Andrew Kawooya 17, omuyizi ku St.Mary's Kitende ne Hippos ttiimu y'eggwanga ey'abatasussa myaka 17, nga bwe beegasse ba ‘Kasasiro Boyz' ttiimu ya KCCA bw'eyitibwa.

"KCCA FC etunuulira nnyo ebitone ebito ate egenda kwetaba mu bikopo bingi okuli ne CAF Confederations cup, yeetaaga abazannyi abalina ennyonta, bano bagenda kwongera ebbugumu mu ttiimu okulaba ng'evuganya obulungi," Moses Magero omwogezi wa KCCA FC bwe yategeezezza.

Bano kati bawezezza omuwendo gwa basambi 11 KCCA FC beyaakaleeta mu kaddirisa k'okwetegekera sizoni ejja.

Bano kwe kuli; Charles Lwanga, Denis Iguma, Brian Aheebwa, Bright Anukani, Juma Balinnya, Andrew Samson Kigozi, Stefano Mazengo, Ashraf Mugume ne Dominic Ayella.

https://cms2.newvisionapp.com/admin/