Busiro ne Bulemeezi ziri ku semi

BULEMEEZI ne Busiro zifungizza okuwangula ekikopo ky'omupiira eky'Amasaza ga Buganda. Bulemeezi yatimpudde Busujju ggoolo 3-1 ate Busiro n'ewangula Mawogola (1-0) mu mipiira egyanyumidde e Njeru mu Kyaggwe eggulo.

Omuteebi wa Busiro, Usama Arafat ng’asindirira ennyanda ku ggoolo ya Kyaggwe gye yawangula 2-1 mu gy’ebibinja. Eggulo, Busiro yakubye Mawogola 1-0 eggulo okwesogga semi.

Bya MOSES KIGONGO
Busiro 1-0 Mawogola
Bulemeezi 3-1 Busujju
BULEMEEZI ne Busiro zifungizza okuwangula ekikopo ky'omupiira eky'Amasaza ga Buganda.
Bulemeezi yatimpudde Busujju ggoolo 3-1 ate Busiro n'ewangula Mawogola (1-0) mu mipiira egyanyumidde e Njeru mu Kyaggwe eggulo.
Wabula abakungu ba ttiimu ya Bulemeezi balaajanidde abantu bonna abalina akakwate ku Ssaza lino okubadduukirira mu nsimbi basobole okweddiza ekikopo.
"Twegayirira Abalyannaka na buli muntu ayagaliza Bulemeezi ebirungi batuyambe. Gen.Salim Saleh n'abagagga abalala mbasaba batujune nga bwe baakola sizoni ewedde," omuwandiisi wa ttiimu eno, David Walakira bwe yalaajanye. Yagambye nti balina okusoomoozebwa ku nsako y'abazannyi, engatto n'ebyetaago ebirala.
Bulemeezi, eyakuba Kyaddondo ku fayinolo ya sizoni ewedde, yaakudda mu nsiike ku Lwokuna ettunke ne Busiro. Leero, Buddu ezannya Mawokota sso nga Gomba y'esookawo ne Bugerere.