Omusuubuzi w'omu Kikuubo ekyama akizudde mu lusuku

Nakula ndaba kitange alima emmere eno era ng'agiggyamu ssente nange ne mmusaba okumpa ensigo kubanga kisobola okuvaamu ssente, erina akatale nga tugitundira mu bookisi ng'ez’ennyaanya.

 Ssebbaale ng’alaga bw’osima ensalosalo mu lusuku.

Bya HERBERT MUSOKE

OLUVANNYUMA lw'okulaba nga ssente z'akola mu bizinensi mu Kikuubo tezimala kulabirira famire ye, Ssaalongo Richard Ssebbaale yasalawo okudda mu kyalo e Buligwe mu Bombo okutandika okulima ku ttaka kitaawe lye yamuwa.

Ssaalongo Ssebbaale kyakulabirako eri abavubuka abangi mu Kampala abalina bakitaabwe mu byalo nga balina ettaka abaana ne babeera ku kibuga nga ssente ze bakola tezibamala kweyimirizaawo kyokka ne basigala nga batya okugenda mu kyalo okulima.

Agamba nti ye bwe yalaba nga guli bwe gutyo, yasalawo okudda mu kyalo kitaawe n'amuwa ettaka yiika ttaano kwe yasimba olusuku, emmwaanyi ne kyetutumula mw'agamba nti afunye ssente okukyusa obulamu bwe n'okwongera ku nnyingiza.

OKUTANDIKA Nakoma mu P6 ne ndaba nga simalaako gwe kugenda ne njiga okwokya ebyuma kyokka nabyo byannema olwo ne ntandika okuyiiya obulamu era nga mu kiseera kino nnina edduuka mu Kikuubo. Mu 2013 natandika okulima bwe nnalaba ng'embeera etandise okunnyigiriza.

Abaana baali batandise okusoma kyokka nga ssente tezimala kwe kusalawo okudda mu kyalo nga taata ampadde yiika ttaano. Natandika okusimba ebitooke ebinnansi nga Mbwazirume, Nakitembe, Kibuzi n'ebirala. Natandikira ku yiika bbiri mwe natandika okukungula ate mu 2015 nasimba yiika endala nga mu kiseera kino nnina yiika ssatu ez'olusuku.

Olw’okuba ettaka kwe nnimira kkalu ate nga lukooye kubanga kitange naye kwe yali alimira, lyetaagisa okuliikiriza kyokka nga mbadde sinnaba kuweza ssente okussaawo ebingi naye nfuba okulaba nga ngimusa ettaka.

Nkozesa evvu lye ngula ku bantu abalina bye bafumba mu bungi nga kabangali nsobola okugifuna ku 50,000/-. Eno esobola okukola mu yiika emu ekitegeeza nti okumalayo olusuku lwonna olwa yiika essatu ngula obumotoka bw’evvu busatu.

Mu ngeri y'emu nkuuma olusuku lwange nga luyonjo, nga temuli muddo okusobola okutangira obulwadde naddala obukaza ebitooke. Ndubikka, okulusalira era engeri gye liri ku kaserengeto, ntemamu ensalosalo okukwata amazzi ga mukoka obutakuluggusa bugimu bwonna.

Nkola mu lusuku lwange, buli luvannyuma lwa wiiki nzija ne mmalayo wiiki nga ndulabirira olwo omukyala n’asigala ng’atambuza emirimu mu Kikuubo.

EMMWAANYI

Emmwaanyi nazisangamu kyokka engeri gye waali wakutte ng’ekibira nazisaawa zonna ne ziroka buto nga ziri mu yiika emu.

Nazo ntandise okuzinogamu wadde nga zaakatandika. Emmwaanyi ekika kya Nyasaland ze nnima naye ndowooza zigenda kwongera ku bungi bw'enkungula ng'ebiseera bwe bigenda kubanga ndaba nga zeeyongedde okulongooka.

EMMERE Y'OMU TTAKA

Nakula ndaba kitange alima emmere eno era ng'agiggyamu ssente nange ne mmusaba okumpa ensigo kubanga kisobola okuvaamu ssente, erina akatale nga tugitundira mu bookisi ng'ez’ennyaanya.

Emmere eno nnima kika kya Kyetutumula era nga ssinga obeera ng'ogirabiridde bulungi buli kikolo osobola okukiggyako bookisi gye ntunda wakati wa 100,000/- ne 120,000/- ekitegeeza nti ssinga obeera olina ebikolo ebiwera nga 100 obeera waakufuna 1,000,000/- oba 1,200,000/- omwaka.

Omwaka oguwedde nalina ebikolo 40 era nabiggyamu 250,000/- kubanga nali naakatandika okugisimba kyokka nga mu kiseera kino nyongeddeko nnina ebikolo ebisoba mu 100 nga nsuubira okubifunamu ssente eziwera omwaka guno.

Okusobola okumanya oba amagoba oba nedda buli kye nsaasaanyaako ssente oba kye nnyingizza nkiwandiika mu kitabo era nga wadde ssente ezisinga nzizza mu nnimiro naye nange mpandiika ssente ze nandibadde nsasula abakozi wadde nga nze nkoze emirimu.

OKUSOOMOOZEBWA

Okusomoozebwa kwe nsinga okubeera nakwo kwa bikozesebwa naddala ebigimusa kubanga ebizungu bya buseere ate birina engeri gye bikosa ettaka.