Gen. azzizzaamu abalimi b'ennaanansi essuubi

NG'ALI mu kawefube w'okwesaggulira obuwagizi mu Bannabukoto Central e Masaka bamuzze mu Paalamenti,amyuka Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi engabo agirumizza maanyi.

Ssekandi ne Saleh

Munnamateeka Ssekandi y'atutte akulira ekitongole kya Bonnabagaggawale Gem Salim Saleh Akandwanaho mu konsityuwensi ye azzeemu abalonzi be amaanyi ng'abatogoleza omulimo gw'okubazimbira ekyuma ekikamula n'okulongoosa ebibala.
Pulojekiti eno yatumiiddwa Kyesiiga Beverage Bottling Company Ltd ng'ebibala batunuulidde obutunda n'ennanansi ebisinga okulimwa mu magombolola Kyesiiga, Buwunga, Kyanamukaaka ne Bukakatta.
Okuva omuggalo gwa COVID 19 lwe gwabalukawo mu ggwanga n'abalimi bano ne basanyalala olw'ebbeeyi okuggwa ng'obutale gye baabitundanga bwesibye nga mu kiseera kino bangi zibavundiddeko ku misiri olw'okubulwa abaguzi.
Abaguzi b'obupikipiki be babadde bazitambuzaako nga bazitunda wakati w'ennusu 500 ne 2000 naye nga tebasobola kuzimalawo ekyabatuusizza okulaajanira Gavumenti ebakwatizeeko.
Munnamaggye Saleh yalagidde omulimo gutandikirewo n'abasuubiza okubakwatizaako okulaba ng'ekirooto kyabwe kituukirira mu bwangu baganyulwe mu ntuuyo zaabwe.
Mw. Ssekandi yasabye Bannabukoto Central bamwongere ekisanja ayongere okubasakira ng'abafuukira olugogo kwe balembekera enkulaakulana okuva ku keeki y'eggwaga.